Yalesse abaana babiri nomukyala , Patience Kyomugisha wabula ono okufa kwa bba , kwamusanze yagenda ku kyeyo e Saudi Arabia .
Museveni mu bbaluwa ye yamalirizza agamba nti lwanaddako okuweereza obubaka , agenda kusitukira mu ba LDU abasiiwuuse empisa .
Kuno kwossa nomusango ogusinga obuzibu ogwe Sweden mwe bamuvunaanira okufera obukadde 53 obwensimbi ze Sweden Kronor mu za Uganda zisukka obuwumbi 23 era nga kati ssente zonna awamu Mbuga ze bamuvunaana okufera zisukka obuwumbi 32 .
Wabula abatuuze bakukkulumidde abaakoze ekikwekweto nga bagamba nti tebaasoose kutegeezebwako nti bakuggalwa era bangi ne bafiirwa emmaali yaabwe gye bandibadde bataasa nga batemezeddwaako .
Sheikh Abdul Hakim Kayongo owe Kibuli yategeezezza nti Kalyango yamusaba okuyamba aziika omwana we mu limbo ye Nkoowe ngagamba nti abekika kye baamugoba e Mbuye olwokusiramuka .
Galiwango yaguddwako omusango gwokuwamba omwana oguli ku fayiro namba SD 0715022019 oluvanyuma omwana nadizzibwa bazadde be .
bitakolwako akeediimo kaddamu .
Ronald Akandwanaho yagaanyi okwogera ku nsonga eno najulizabakama be .
Biwandiikiddwa Herbert Musoke okuva ku Harriet Nakabaale owa Camp green e Kawaala .
Yasabye abantu okumanya ennyo ebikwata ku nguzi nokugirwanyisa nagamba ntikino obuli bwenguzi bukosezza ebyokussa mu nkola manifesito ya NRM .
Bino byabade mu kibangirizi omutuuzibwa enkiiko ku offiisi za minisitule ya Kampala era muno mwe yategeerezza nga gavumenti bwetegenda kumala gasazaamu kontulakiti ya Nabugabo kubanga ekyalina endagaano egenda okuggwaako mu June 2019 .
Wabula omwogezi wa Poliisi mu Kampala nemiriraano yagambye nti kino Poliisi tegenda kukikkiriza kubanga bo ngekitongole be bavunaanyizibwa ku kyokuwa abeesimbyewo bonna obukuumi bwatyo nalabula aba FDC , okuyimiriza amangu ddala emirimu gyakabinja kabavubuka ke bakoze .
18 Ekiragiro kya kkooti kiteekeddwa okulaga ebikwata ku muntu asengula omulala ku ttaka .
Abbaannttuu kkyyee bbaaggaammbbaa Abamu ku basuubuzi abakolera ku kizimbe kya Zai Plaza nga batidde okukiyingira oluvannyuma lwekibiina kya KACITA okubaggulira amadduuka gaabwe omugagga Yanga ge yabadde aggadde .
Baakola ddiiru ku mukyala Omurussia Nurkhan Niiazova nnannyini kkampuni ya Nat Metals DMCC ne bafuna ddoola obukadde buna nekitundu ddoola 4 , 500 , 000 engabana nereeta obuzibu .
lEkizimbe kino kati kivuganya bulungi nnyo n'ebifo ebibadde bimanyiddwa ennyo mu kukung'aanya abalambuzi naddala eddungu erimanyiddwa nga Arabian Desert erijjudde omusenyu ogwakola obusozi era ng'eno ne kkampuni ya gavumenti ekola ku by'obulambuzi eya Arabian Adventure gye yasalawo okuteeka emmotoka ezirambuza abantu we zisimbula ne zibatwala mu bifo ebirala . .
Ekiri mu mwoleso gwa Harvest Money Expo 2019 e Namboole .
Yasabye aba LC okuzigaba obulungi zisobole okumala buli mutuuze mu kitundu .
Kabanda ne bba Charles Kabanda baategeezezza abazadde nti obuvunaanyizibwa bwokulabirira abaana bwa babiri nga babakuliza mu mpisa bafuuke aboomugaso mu nsi .
Ono era abategeezezza ngenteekateeka yokubasenda bwetagenda kutaliza mugagga era olukiiko we lugweeredde , talina kyanyeze ku kyakufunira abo abanaaba basendeddwa ekifo ekyolukale we banaaddukanyiza emirimu gyabwe .
Ate Ssempijja yagambye nti ebitundu ebyenjawulo nga Nateete ne Lubaga wonna bakimanyi nti DP tesobola kuwangulwa kubanga abantu bamanyi ebirungi ebiri mu nkola yamazima nobwenkanya .
Omusango gwa kuddamu okuwulirwa nga 2372020 .
CP Eria Luwalira ne SPC Harman Kinobe abasirikale ba poliisi ye Kammengo abaakedde mu maka ga Paul Mukasa 30 omutuuze we Ndoddo mu ggombolola ye Kammengo mu Mpigi ku musango gwokutema muliranwa we baavudde mu mbeera ne bamukuba amasasi agaamuttiddewo bwe yagezezzaako okutema omusirikale enkumbi ku mutwe .
Sheikh Guggwa ye muntu abadde mu bbanga era talina watasobola kugenda .
Ate enkambi ya Latif erina essuubi okufuna obuwagizi okuva ewa Bobi Wine naba People Power , kwossa bameeya abamu mu Munisipaali za Kampala .
Omuserikale omu yakwatiddwa omulala yadduse bakyamunoonya .
Ssaabasumba Dr . Cyprian Kizito Lwanga ye yayimbye mmisa e Kigungu ku Ssande ku mukolo gwokukuza olunaku olwo olwebyafaayo mu Klezia .
Mukasa agambye nti ekigendererwa kyokusooka okusomesa abasaabaze obuvunaanyizibwa bwabwe mu takisi ne baddereeva kwe kubakwata nga bamanyi bulungi omusango gwe bazzizza bavunaanibwe nga tebalina kye beekwasa .
Mu bakazi , Halima Nakaayi akutte kyakutaano mu mita 1000 mu ddakika 2 ne sikonda 32 nobutundu 12 nga naye amenye likooda ya Uganda ate munne Winnie Nanyondo nakwata kya munana ne 236 . 54 nga era mu season eno ya timing ye ekyasize .
Bino byonna kigambibwa nti baabikola nga bakozesa emmundu era nga beebamu ku kibinja kyabantu abaatigomya Bannamasaka mu bitundu bye Lyantonde , Ssembabule ne Rakai nga batema abantu nokubba ebintu .
Yawummula ngagamba nti obulamubwe bwali tebukyasobola olwo Klezia neronda Paapa Francis aliko kati .
Kigambibwa nti abaana ba Kiwalabye be baamulumbye nga bamukanda 400 , 000ze yatunze mu musenyu okuva mu kibanja kye .
Bp Tamale yeebizza emikutu gyamawulire okuli ne Bukedde olwokusigala nga bayunze Obulabirizi nabakristaayo gattako abantu abalala bukya muggalo gwa COVID 19 gutandika .
Mu biseera ebyo nga bizinensi zAbalibya zonna eziri mu Uganda omwali National Housing , Uganda Telecom Ltd , Tropical Bank nendala , Kagimu yazirinamu omukono .
Ssentebe weggombolola eno , John Mwesigwa Rucucu yasinzidde mu lukiiko luno nalumba bassentebe bebyalo olwokuvaako emivuyo gyettaka e Ssemabule nti kuba be bateeka emikono ku biwandiiko ebitunda ettaka nga tebamanyi na nsalo zaalyo .
Amawulire mu Sweden gaategeeza omwaka oguwedde nti Gavumenti yaabwe yali esabye Uganda ebawe Mbuga bamuwozese kyokka ne kizuulwa nga tewali ndagaano ya kuzzaayo basibe wakati wamawanga ago gombi .
Mukaaga mu kwewozaako yagambye nti kituufu baamukutte nekiso naye yabadde takigenderedde kutema muntu ngebyokukozesa ebiragalalagala yakakasizza nti kituufu nga ku luno yabadde tabikozesezza .
Mafabi nga yaakatandika emirimu yagambye nti si mupya mu mulimu guno kubanga akakiiko yakakulirako ngagenda kutandikira munne Osege we yakomye .
Kyokka poliisi yagaanyi okwogera ku basibe abalala abasatu , abeeyambisizza kkateni gye baaluse ngomuguwa ku CPS , ne bakkirako ne babomba .
South Korea yalangirira abantu 12 , 535 abaakwatibwa Corona nekakasa nti 281 bebaakafa ekirwadde .
Bano bagguddwaako omusango ku fayiro nnamba SD REF 1017022019 ku poliisi yoku Kaleerwe .
Beewuunyizza era Kenzo eyalaga obubi obwali mu Bobi ne Bebe Cool obutakwatagana nasaba Katikkiro Charles Peter Mayiga abakwataganye ne kikolebwa mu kivvulu kya Kenzo ngaweza emyaka 10 ngayimba ekyali ku Serena hotel mu January wa 2019 ate kati kye yabadde ayagala kuzzaawo entalo ye ze yalaga nga mbi mu bayimbi .
Onyanmgo yasabye buli muntu okuyambako ku muyiggo gwomutemu ono era bayambe okuwa poliisi amawulire agayinza okugituusa ku wa omusajja ono gye yatwala omwana .
Ku bayizi abo 18 , 550 abalenzi 12 , 577 nabawala 5 , 973 ababadde baweererwa Gavumenti ku bwereere ate abasigadde 81 , 122 abalenzi 45 , 782 nabawala 35 , 340 babadde basomera mu masomero agobwannannyini .
Poliisi ye Bulaga ku Mwenda , Najjuuko gyakuumirwa yategeezezza nti bamugguddeko omusango gwokugezaako okutta omuntu ku fayiro nnamba SD2410022019 Ssentebe wa Bulaga B , okulinana Ssumbwe Najjuuko ne bba gye basula , Charles Ssentongo yalaze nejjambiya Najjuuko gye yabadde agulidde abatemu era nalabula abakyala okukomya obusungu .
Abakazi baategeezeza nti abavubuka bano batuuka nokubeekakaatikako ne babakaka akaboozi kwe kusaba poliisi eyongere ku bukuumi mu bitundu byabwe .
Omwogezi wa Poliisi owa Kampala ne miriraano Luke Owoyesigyire agambye bwebafunye amawulire gettemu lino bayanguye mangu nebakwata Nakamwanda era engeri gyeyasimudde enyumba kirabikira ddala nti yabade alina ekigendererewa kyokutta bbaawe era bamugudeko omusango gwobutemu ngakumibwa ku poliisi ye Jinja road .
Mu bano mulimu abakulembeze abazze bakulembera Mukono nabaliwo kati , bannaddiini , abakozi ba gavumenti , abagagga abayimiriddeko enkulaakulana ya disitulikiti nebiti byabantu ebirala .
Richard Karemire namusikiza Brig . Gen . Flavia Byekwaso .
Dr . Herbert Wabigogobi ategeezezza Bukedde nti yedokita omutendeke era okufa kwomukazi ssi nsobi ye kubanga bangi baawonyezza sso nabafiiridde mu mikono gye bangi naye tebeeyisa nga Mukasa bwakoze .
Konsati eno eyategeddwa obulungi nga ttiimu ya Fire Base Crew esinziira ku One love Beach yamaze essaawa emu neddakiika 45 nga baasoose kuyimbira ku mazzi ne badda ku lukalu .
Ssekikubo ne babaka banne aba NRM abaali mu palamenti eyomwenda abaakazibwako erya aba NRM bakiwagi okugeza Wilfred Niwagaba ne Barnabas Tinkasimire baagobwako mu kibiina kino olwebintu ebyekuusa ku kwogeraranga NRM amafukuule .
RDC Tukaikiriza yabasabye nti bamwegattako mu kunyikiza enjiri mu bantu boongere okwekuuma ekirwadde kya COVID 19 kireme kuzinda Kalungu etuusizza obudde buno nga tekinnakwatamu wadde omuntu omu nga kivudde nkolagana eyawamu .
Oluvanyuma baamuwewenyudde kibooko 100 ne bamuggyako enkoko ne bamuleka nagenda nga bagamba nti ne bwe banaamusiba era ajja kuddamu kubanga obubbi alinga eyayonka obuyonke .
Abaserikale baakutte Nicholas Ssekajja nnannyini kifo kya zzaala abaana we bakeera .
TUGENDA MU KKOOTI Ali Ssekabembe , looya wa Majjanja yagambye nti , mu wiiki eno bajja kugenda mu kkooti .
Wabula oluvannyuma yamala nagitwala mu kakiiko kyokka nga terambika buvunaanyizibwa bwe .
Yategeezezza nti ku Lwokusatu lwokka , yawandiise abawala abasukka mu 20 abaamutuukiridde ku ofiisi ye kyokka ngabalala nga 40 beewandiisizza ku mukutu gwempaka zino ku yintanenti ogwa www . misscurvyuganda . com omugatte gwabakyala abaakewandiisa guli mu 200 .
Kitegeeza nti ogenda kufuna 41 , 190 , 000 oba 41 , 370 , 000 . BYOLINA OKWETEGEREZAlOlina okufuna olulyo olutuufu . l Oyinza okwetaaga oikukebera ettaka , okugeza waliwo olulyo olutadda Kyaggwel Olina okubala sizoni nosimbira awatuufu . l Zirian lwe zigwe ebbeeyi bokisi ennamba negula emitwalo omusanvul Olina kugukola nga mulimu
Ssentebe wekyalo kino , Charles Malinzi yategeezezza nti si kya bwenkanya okulekayo abemyaka 65 ne batandikira ku 80 kubanga na bano babeera bakaddiye nga tebakyasobola kweyimirizaawo . Kyokka abakadde abawerako baakonkomadde olwokummibwa ssente zino olwobutaba na densite nabatannaweza myaka 80 .
Abamu ku bayizi abaayise ye Justine Nakiyingi eyafunye 14 mu GELsub Maths , Shamirah Nabbanja eyafunye 14 mu BCMICT , Sandra Nabaleke eyafunye 10 mu DEGsub Maths ne Richard Kiyingi eyafunye 13 mu BCMICT .
Nagamba nti tewali kyetaagisa kukuba Bannayuganda batalina musango bbomu .
Omugenzi we yeekumiriddeko omuliro abadde yaakagula emmotoka wish nnamba UAE .
wabula nasaba banna kibiina okukomya okubalwanisa entalo zebyobufuzi .
Ekikwekweto kino tekitalizza ba bbooda ababadde batisse abasukka mu muntu omu ate nga tebambadde masiki .
Wadde ngebikemo bingi naye nninze amale kunjatulira nti yankoowa olwo nange mmuviire .
Paasita Lukau byongedde okumwonoonekera , kkampuni ssatu ezikola omulimu gwokuziika okuli Kingdom Blue , Kings Queens Funeral Services ne Black Phoenix , ziddukidde mu kkooti okumuwawaabira nga bamuvunaana okuzannyira ku mulumu gwabwe .
Emmanuel Lutaaya era nga gwetabiddwaako ne Pokino Vincent Mayiga .
Bagenda kuwandiika obutabo mu nnimi ezenjawulo kiyamba abayizi okutegeera obulungi .
Wabula Sheik Mugerwa era yategezezza nti nga amasinzizo gakyali ku muggalo olwekirwadde kya Covid19 , Abasiraamu bateekwa okussa kubbali enjawukana wabula baveeyo neddoboozi erimu okwegatta ku bakulu ba madiini amalala okwogereza Gavumenti eggule amasinzizo .
Ekibiina era kiguddewo okuwandiisa bammemba abaagala okwesimbirawo ku kaadi yekibiina wabula nabalabula obutagenda ate kuggyayo mpapula mu Kisinde kya People Power kubanga JEEMA ekolera wamu nabo era bajja kutuula okusunsula balabe gwe bawa kaadi ku buli kifo .
Yasabye abayizi okukomya ehhombo yokusoma okufuna empapula wabula basome kufuna obukugu obunaabasobozesa okwetandikirawo emirimu basobole okweyimirizzaawo mu kifo kyokwewuuba nga baginoonya .
Ronald Katende bba wa Nabasumba era kitaawe wa bamulekwa ababiri abaasangibwa nomulambo mu nnyumba yategeezezza nti , okuva mukyala we lwe yafa ne bamuziika yasalawo obutawummula ne yeegatta ku poliisi ne batandikirawo omuyiggo okutuusa lwe baamukukunudde e Nansana gyabadde yaddukira .
Ngomukulembeze kinkakatako okutoola ku katono ke nina ne tukagabana nabantu be tuwangaala nabo era nkubiriza bakulembeze bannange abalala nadala abasiramu bakole kyekimu kuba buli bwogaba Allah akusasulamu empeera Ntege bwagambye .
Oluvannyuma abenganda za Namugumya baasabye poliisi esonyiwe omuntu waabwe ne bakkirizza okujjanjaba omuwala okutuusa lwa nawona kyokka poliisi yabategeezezza nti kino tekiggyawo omusango .
Ne mu kugenda e New York yapangisa nnyonyi yiye .
Muhangi avunaanibwa wamu neyali omuduumizi wa poliisi Gen Kayihura ne bofiisa abalala ku misango gyokuwamba bannansi be Rwanda abaali banoonya obubudamu mu Uganda ne babaza e Rwanda ssaako okuwa abantu ebyokulwanyisa nga tebalina kubeera nabyo nga mu bano kwekuli nokuli kitatta emmundu .
Bwoba mmotoka obadde togikoleezaamu buli ku makya kivaako ekizoosi okutalagga munda lwoddamu okugivuga kigyanguyira okufuna ebituli netandika okuvuuma obubi nokunywa ennyo amafuta , kale kyandibadde kirungi mmotoka okusooka okugitwala mu ggalagi ne bagyekebejja okwewala okufuna obuzibu ku luguudo .
Wabula aba Kikuubo batidde nti sing aba minisita bayingira m Kikuubo ngabayiwamu ebintu mu luguudo weebali bayinza okuddamu okubaggalawo kyebavudde basaba KCCA ebagyewo kubanga tebasasula misolo ate tebapangisa madduuka ate nga ekifo kyaabwe bakifudde katale .
Wassajja yabaddewo mu Kakiiko era ne Dr . Kasasa bazzeemu okumuyita annyonnyole ku bimwogerwako .
Kireetawo okunyweza omwenkanonkano era abakyala beesigwa .
Property ezigambibwa nti Kimbowa yazigula zaali zize yatuwaako amayumba e Wakaliga ne tukola akakalu tusuzeemu abakozi ba TV ffe ne tumuwaamu obulango era bwe yafuna sente nasasula amayumba egammuddira era nemmotoka nyingi zatuwa ne tukola endagaano .
Yagambye nti siteegi endala tezirina buzibu okuggyako eye Bugerere .
Abaagala obubaka bwa Palamenti bali 457 .
Ensonda okuva ku poliisi e Kawempe zaategeezezza nti oluvannyuma abaserikale baafulumizza Yiga ne bamussa mu mmotoka ne bamuvuga okumutuusa ku SID e Kireka gye yasuze okutuusa Mmande gyagenda okuggyibwa atwalibwe e Kibuli awali fayiro endala .
Gavumenti ya Japan yeyasinze okuteekamu ensimbiEra lusubirwa okuggwa ngaDecember , 31 , 2021 ngawamu lwakutwala emyezi 37 nga luzimbibwa nga lwakuwangala emyaka 100 .
Akulira poliisi ye Mpigi , Erias Twesigye agambye nti Ssebunya agguddwaako omusango gwobubbi ku fayiro SD 0518022019 era wakutwalibwa mu kkooti avunaanibwe .
Jjajja Kyannaggolo agambye nti talina gwatebeereza okumukolera ttima nga yenna akimukoze amukwasizza Katonda .
Abasawo ba St Joseph Musaanya Kyamuliibwa bamujanjabye nadda bulungi engulu .
Kigambibwa nti Yumba oluvannyuma lwokubwa masasi ku Sande wiiki ewedde abaddukirize bamusoosa mu ddwaaliro lye Hoima kyokka oluvannyuma lwembeera ye okutabuka basawo mu ddwaaliro elyo bawaolirizibwa okumwongerayo e Mulago mu Kampala gyakyajanjabibwa naye nga mu kiseera kino agamba nti talina buyambi wadde akasente .
Yayongeddeko nti , Museveni kati asigalidde kukakasibwa obukiiko bwa NRM obufuzi okuli aka CEC ne NEC .
Ssekandi agumizza aba Masaka enkadde nti emyalo gye balina ku nnyanja Nalubaale gibasobozesa okufunamu emisolo egibayimirizaawo .
Abalala bagamba nti abakazi bangi be yalekawo ate agira nabasisinkana ne banyumya ekinyiiza Mbabazi .
Kyokka nagamba nti kyandibadde kirungi okusooka okwebuuza ku DP nga FDC tennabawa bukulu obwo .
Ku kyomusaala ogunaasasulwa baminisita bano abapya , Mayiga yagambye nti bagenda kuwagirwa mu ngeri yonna okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwaabwe ngOmuwanika yalina okusala amagezi abakulu bano gyebanasasulwamu .
Kyokka Wasswa yeegaanye okubaakone kyamanyi ku bulumbaganyi buno .
Asabye abantu okubategeeza ssinga balina ebifo bye bamanyi ebitunda amabaati agatali ku mutindo .
Juma Ssebuliba amanyiddwa nga Mc Kadonga yagambye ntinebibiina ebikulembera abayimbi tebafuddeyo kuyamba bayimbi bato kyokka ngabasinga abatutumufu nga Eddy Kezo nabo baaliko abato nga katiyomu ku batunda Uganda mu nsi ze Bulaaya , bwatyo nasaba gavumentibwekuba kuyamba bayimbi ereme kusosola .
Yagambye nti bakyamuyigga , nasaba abantu okutuukirira poliisi nga bamulabyeko .
Kakasa obuyonjo bwekiyumba nobukuumi okuva eri ababbi nensolo eziyinza okuzirumba ne zizitta .
